Okukuuma obutonde; eccupa ezaatika zettaniddwa nnyo

Eccupa za plastic zimaze ebbanga eriwera nga zezeeyambisibwa mu kutereka amazzi n’ebyokunywa ebirala ebiweweeza, nga n’ebifo ebisanyukirwamu bingi tebikaluubirizibwa kubitunda. Kyokka plastic ono gy’akomye okweyambisibwa, n’okwonoona obutonde bw’ensi erabw’otunulatunula mu myaka mingi mu kibuga Kampala, mujjudde plastic olw’enkwata embi okuva mu bantu.Kaakati ebifo ebigendamu abantu nga wooteeri n’ebirala, bitandise okwesambira ddala ebintu bya plastic nga […]

Waliwo abalwadde ba kkookolo abaagala gavumenti ebazimbire

Okusoomoza okusinga abalwadde ba kkookolo kwe basanga nga bazze mu ddwaliro e Mulago okufuna obujjanjabi kwa byansula na ddala abo abava mu bitundu ebyesudde amasekatti. Kati kino kiviiriddeko abalumirirwa abantu bano okussa gavumenti ku nninga, ezimbewo ekifo ekiyinza okukola ng’ekisulo ky’abalwadde bano okusinga okwetuuma mu weema ezaatekebwawo eddwaliro nga balinda obujjanjabi. Uganda Cancer Institute ekifo […]

Anthony Zziwa: Tuddeyo ku musingi tusobole okutaasa amaka

Akulira Abepisikoopi mu Uganda era Omusumba w’essaza lya Mityana Anthony Zziwa alaze obwennyamivu olw’abazadde ab’esuuliddeyo ogwa nnagamba ku nkuza y’abaana, nga kino kiviiriddeko okutyoboola eddembe ly’abaana wamu n’okusanyaawo empagi y’amaka. Ono era asabye gavumenti okuvaayo kw’ebyo ebisoomoza ba BannaUganda.Bibadde mu bubaka bw’Ekeleziya katulika obw’amazaalibwa.

Okukabasanya abataneetuka, bannaddiini bambalidde abalimi ba kkooko

Kizuulidddwa ng’abaana abatanneetuuka ebeeyongedde okufuna embuto e Bundibugyo bwekivudde ku bavubuka abafunye ensimbi okuva mu kirime kya Kkooko mukiseera kino ali ku bbeeyi eyawaggulu.. Kati bannaddiini ebuuyi eyo basitukiddemu okulabula ku mbeera eno. Omulabirirzi w’obulabirizi bwa West Rwenzori y’ayogedde bino.

Muhammad Kanatta bamutegekedde Duwa emusiibula

Aba famire ya Muhammad Kanatta, omutuuze w’e Mukono eyawambibwa ab’ebyokwerinda mu December wa 2020, basazeewo okutegeka Dduwa okumusaalira oluvannyuma lw’essuubi eririddamu okumulaba nga mulamu okukeewa. Bano bategezeezza nga bwe batubidde n’abaana ba Kanatta 16 beyaleka ng’abakyala balaze okunyolwa olw’ennaku gye bayitamu okwebezaawo n’abaana baabwe. Dduwa eno yeetabiddwako bannakibiina ki NUP nga bakulemberwamu akulira oludda oluvuganya […]

Kkampuni ya Bio Dei Pharma eziimbye mu luguudo lw’ekyalo

Abatuuze e’ Kigoogwa baagala kampuni ya Bio Dei Pharma gyebalumiriza okuzimba ekikomera ne geti ku ttaka lyabwe esooke ebalirire basobole okuva ku ttaka lyebagala baveeko nga babasindkiriza. Kino kiddiridde okuba nti bano babasibyeko olukomera mu kitundu kino kuno kwossa ne Geti eyazimbiddwa kampuni yemu mu kkubo eribatwala mu maka gaabwe. Obugazi bwettaka lino eliliko olukomera […]

Eyassuuka obulwadde bw’omutwe alunyumya

Waliwo omuwala amaze emyaka egisoba mu 20 nga alwanagana n’ekizibu ku bwongo ky’alowooza nti kyava ku kufiirwa bazadde bombi ng’akyali muto n’atafuna mukwano gwa maama ne taata ate be yakuliramu ne bamulangiranga obwa mulekwa. 

Amaze emyaka gye gimu ng’alwanagana n’ekizibu ky’okwagala okwetta oba okutta abantu abalala n’ebintu ebirala ebirina obulamu. Kyokka oluvannyuma lw’okwezuula, kati amaze […]

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps