Omuzira kisa aduukiridde Judith Gimbo eyatundanga ffene okwewerera
Gyebuvuddeko twakulaga emboozi y’omuwala Judith Gimbo eyatundanga ffene okwewerera, kyadaaki natikkirwa e Kyambogo. Kaakati waliwo omuzira kisa Sulaiman Bukenya amuduukiridde , kko n’okumusubiza okumwongera ensimbi agatte mu bizinessi ya ffene gw’atunda.

