Yiino emboozi ya Mboowa, omulimi atalina magulu gombi

Waliwo omuyizi wa myaka 18 atalina magulu gombi wabula nga yefunyiridde okukuguka mu by’obulimi n’obuluunzi. Edward Musisi Mboowa tumusanze ku tendekero ly’ebyobulimi mu district y’e Luwero eyo era agamba nti ekirooto kye kufuuka omu ku balimi abagundiivu songa ayagala n’okusomesa abalala ku nimba ey’omulembe.

Okuwanduka kw’abayizi abalenzi: Baguma ayagala okusoma kwa pulayimale ne siniya kube kwabuwaze

Ssaabawandiisi w’ekibiina ekigatta abasomesa ki Uganda National Teachers Union oba UNATU, Filbert Baguma ayagala gavumenti okusoma kwa Pulayimale ne Siniya ekufuula kwabuwaze okusobola okumalawo embeera y’abayizi okuwanduka mu masomero 
Baguma abadde ayanukula ebibuuzo ku ky’omuwende gw’abayizi abalenzi abawanduka ogweyongedde.

Ono era asabye gavumenti eyongere ku nsimbi zeeteeka mu masomero ssaako okukyusa engeri y’okugezesa abayizi, okulaba nga […]

Twayambako mu lutalo; E Kamuli waliwo abakukkuluma

Waliwo Famile yabaazirwanako e Kamuli esabye pulezidenti Museveni atuukirize obweyamo bwe yakola gye bali mu biseera by’olutalo olwaleeta gavumenti eriko mu buyinza.

 Famile eno ya Mugenzi Patrick Kigongwe era nga Namwandu Nabirye Kigongwe alumiriza nti bba nti aliko engeri gye yayamba ku Museveni mu biseera by’olutalo omuli n’okumukweka, kyokka oluvannyuma lw’olutalo nebeerabirwa.

Abamu ku bakulira abaazirwanako […]

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps