Yiino emboozi ya Mboowa, omulimi atalina magulu gombi
Waliwo omuyizi wa myaka 18 atalina magulu gombi wabula nga yefunyiridde okukuguka mu by’obulimi n’obuluunzi. Edward Musisi Mboowa tumusanze ku tendekero ly’ebyobulimi mu district y’e Luwero eyo era agamba nti ekirooto kye kufuuka omu ku balimi abagundiivu songa ayagala n’okusomesa abalala ku nimba ey’omulembe.

