Eyassuuka obulwadde bw’omutwe alunyumya

Waliwo omuwala amaze emyaka egisoba mu 20 nga alwanagana n’ekizibu ku bwongo ky’alowooza nti kyava ku kufiirwa bazadde bombi ng’akyali muto n’atafuna mukwano gwa maama ne taata ate be yakuliramu ne bamulangiranga obwa mulekwa. 

Amaze emyaka gye gimu ng’alwanagana n’ekizibu ky’okwagala okwetta oba okutta abantu abalala n’ebintu ebirala ebirina obulamu. Kyokka oluvannyuma lw’okwezuula, kati amaze […]

Abasawo bagamba abakwatibwa kawaali w’enkima beeyongedde

Minisitule ye byobulamu etubuulidde nti ekirwadde kya kawaali w’enkima kyakatta abantu mukaaga mu ggwanga lyonna, kyoka nga ggwo omuwendo gwabalwadde gutuuse ku 1,044. Dr. Daniel Kyabayinze akola ku by’obujanjabi atubuulide nti disitulikiti 57 zezakazuulwamu ekirwadde kino, wabula nga kisinga mu Kampala ne Wakiso. Ono ayagala abantu babeere begendereza nnyo naddala mu kaseera kano ak’ennaku enkulu.

Omugotteko ku kisaawe Entebbe, abayingira eggwanga bayitiridde obungi

Abaddukanya ekisaawe kye Ntebe balabudde abantu abatekateeka okukozesa ekisaawe ky’ennyonyi entebe nti bateketeeke engendo zaabwe mu budde nga kino kivudde ku bungi bw’abasaabaze. Omwogezi w’ekitongole ekikola ku mbuuka z’ennyonyi ki Civil Aviation Authority Vianney Lugya agambye nti olwabantu abangi abayingira, ko nabafuluma eggwanga, kyangu nnyo omuntu okusubwa ennyonyi ebadde emutwala.

Yinsuwa zibaliyirire, abaafiiriddwa ebyabwe mu muliro gw’okubbiri bawabuddwa

Abakugu mu nkola ya Yinsuwa bawabudde abaafiiriddwa ebintu byabwe mu muliro ogwakutte Garagi y’e mmotoka e mulago kubbiri okuddukira mu yinsuwa zaabwe zibaliyirire naddala eri abo ab’ebidduka. Kinajjukirwa nti bangi ku bannyini mmotoka baabadde batadde nnyini kifo ku nninga okubaliyirira, newankubadde naye teyasigazza kantu. Kati aba Yinsuwa bagamba nti tegugwana kuba mutawaana gwa nnyini kifo […]

Poliisi ennyonnyodde lwaki obubenje bw’okunguudo bukyali butono

Poliisi y’ebidduka etubuulidde nga eky’okuyiwa basajja baayo ku nguudo ng’obudde bukyali ,bwe kiyambye ennyo okutangira obubenje obungi obutera okugwawo mu kaseera kano ak’ennaku enkulu. Ayogerera ekitongole kino Micheal Kananura atubuulidde nti tebannafunayo kabenja kamaanyi mu ggwanga lyonna nga kekuusa ku nnaku nkulu , ekibawadde amaanyi nti ebikwekweto byabwe bivuddemu ekiramu. Kyoka alabudde abagoba be biduka […]

Enkuba esudde weema omusula ababundabunda

Abantu abaasimatuka okubumbulukuka kw’ettaka e Bulambuli ne batwalibwa mu gombolola ye Bunambutye wetwogerera bali mu kuyagga. Kyaddiridde kibuyaga okumenya weema mwe babadde basula. Kiddiridde nnamutikwa w’enkuba eyatonye akawungeezi k’eggulo, eyalese weema saatu ennena mwebasula nga ziri ku ttaka n’abantu musanvu ne bafuna ebisago ebyamaanyi. Batubuulidde nti ekiro ekikeeseza olwaleero baasuze mu mpewo.

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps