Okuzimba mu luguudo: Ekikomera kya Nytil kimenyeddwa
Minisiter omubeezi ow’e takka Sam Mayanja alagide abatuuze kyaalo Naminya South mu Njeru municipality okumenya ekisenge ekyaali kyazimbibwa Kampuni ya Nytil mu oluguudo oluyisa abatuuze. Ekubo NYTIL lyeyaggala lyali liyisa abantu abave e Njeru okudda ejinja,songa era lituuka lu luguudo lw’egaali y’omukka.Kati minisita Mayanja asinzidde mu lukiiko lw’akubye ku kyalo kino,n’alagira abatuuze okumenya ekisenge kino […]

