Sserunjogi awandiikidde Lukwago ku kwemulugunya kw’abasuubuzi

Abakulembeze mu gombolola y’e Kawempe batiisizatiisiza nga bwebagenda okunga abantu okulekera wo okusasula omusolo gw’amayumba.

Bano bemulugunya olw’engereka n’enkunganya y’omusolo guno gye bagamba nti siyabuntu era ng’enyigiriza abasuubuzi 
.
Bano bawandiikidde Loodi meeya wa Kampala ebbaluwa ku nsonga eno gye bagamba nti yeetaaga okugonjoolwa amangu 


Ab’e Makerere beekalakaasizza lwa nsako y’abayizi, poliisi eriko beekutte

Poliisi eriko abayizi beekutte ku Yunivaasite e Makerere ng’ebalanga kukungaana mu ngeri emenya amateeka 

.Abayizi bano bebo abasasulirwa gavumenti ababadde beekalakaasa olw’a Yunivaasite eno okulwawo okubawa ensako yaabwe .

Ku lwokusatu lwa wiiki eno abatwala ettendekera lino bategeeza ng’esako yabayizi bano bwegenda okusasulwa oluvannyuma lw’onnyongereza ku mbalirira yaabwe okuyitamu 
.

Minisita Byamukama agamba ekisaawe ky’ennyonyi e Hoima kisemberedde okumalirizibwa

Waliwo essuubi nti wegunaatuukira omwana ogujja mu mwezi ogw’omwenda ekisaawe kyennyoni ekye Hoima ki Kabalega International Airport kijja kuba kiggulwawo.

Okusinziira ku Minista Omubeezi ow’ebyentambula Fred Byamukama, omulimu gw’okukola ekisaawe kino gubulako ebitundu bitaano byokka guggwe.

Olunaku lw’eggulo Byamukama yalambudde ku mulimu gw’okuzimba ekisaawe kino.

“Mulwanirire omugabo gwammwe” Kyagulanyi akunze ab’omu Abim ku ky’obugagga kya zzaabu

Olunaku olwaleero akulira ekibiina ki National Unity Robert Kyagulanyi Ssentamu asiibye mu disitulikiti ye Abim mu bendobendo lye Karamoja ng’akungira ekibiina kye obuwagizi 

.Ono kyasimbyeko essira kwekujjukiza abeeno obuvunanyizibwa bwabwe okulwanirira omugabo gaabwe ku by’obugagga eby’omuttaka ebisimibwa mu kitundu kyabwe naddala Zaabu 
.

Stay informed with NTV Uganda, your trusted source for breaking news, live TV, sports updates, entertainment, and exclusive features. Stream live and catch up on your favorite shows anytime, anywhere.

Contact Us
  • (+256)414 563400
  • newsdesk@ug.nationmedia.com
  • Serena Conference Centre, P.O.Box 35933, Kampala, Uganda
Download Apps