Twagala Ssente – Abasawo abagezesebwa basitudde enkundi nate
Abasawo abali mukugezesebwa oba ba Medical Interns bategeezezza nga bwebagenda okwekalakaasa okuva nga 1 omwezi ogwokubiri singa ensonga zaabwe tezikolebwako.Bano bagamba nti baagala ekiragiro kya pulezidenti eky’okubawa ekitundu ky’omusaala ogusasulwa abasawo abaakakasibwa ku mirimu kiteekebwe mu nkola.Minisitule y’eby’obulamu bano ebaanukudde.

