Ababundabunda mu Uganda bagamba bakaluubirizibwa okwebezaawo
Bannaakyewa basabye government okukwasizaako abanoonyi b’obubudamu abali kuno mu kutumbuula eby’enfuna byabwe kino kiyambeko mu kukulaakulanya eggwanga. Olwaleero Uganda yeegasse ku nsi yonna okujaguza olunaku lw’abantu ababundabunda.Gavumenti ya kuno ebawadde amagezi beenyigire nnyo mu ntekaateka za gavumenti z’eteekawo nabo basobole okwekulaakulanya.

