Obwetaavu bw’omusaayi: Abawagizi ba NUP bajjumbidde okugugaba
Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi asabye bannabibiina ebirala okwenyigira mu kugaba omusaayi okusobola okutaasa obulamu bw’abo abasangibwa nga bagwetaaga naddala mu biseera by’obubenje. Olwaleero aba NUP bagabye omusaayi nga bakwataganye n’abakugungaanya abazze ku kitebe kyabwe e Makerere Kavule. Kaweefube ono,batubuulidde nti baakumubunya eggwanga kubanga lyonna kubanga ekizibu ky’ebbula ly’omusaayi tekisosola bannabyabufuzi n’abatali.

